Amawulire

Prof Bukenya yegaanye obuyekeera

Ali Mivule

June 6th, 2013

No comments

 

Prof Bukenya 2

EYali amyuka omukulembeze w’eggwnaga Prof Gilbert Bukenya yegaanye okutaba mu bikolwa by’obuyekeera obw’ekika kyonna

Ng’ayogerako eri bannamawulire mu maka ge e Kakiri, prof Bukenya agambye nti akitegeddeko nti waliwo ekibinja ky’abantu abagaala okumusibako amatu g’embuzi nga bamusembereza abayekeera n’ekigendererwa ky’okumunafuya mu byobufuz

Mu lukiiko lw abannamawulire, omuvubuka ategerekese nga Frank Kigozi agambye nti yakwatibwa abasajja abali mu ngoye za bulijjo nebamukunya nga bagamba nti yoomu ku Prof Bukenya b’ayingiza mu buyekeera

Omuvubuka ono agambye nti abamukunya bategeeza nga prof ono bweyali asindika abavubuka e China okutendekebwa nga bino byonna bikolebwa ng’abantu bano bayambibwaako bannammagye  abatatuuddwa

 

Wabula ng’awayaamu naffe, Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Col Paddy ANkunda bino byonna abiwakanyizza ng’agamba nti bbo tebabimanyi

Bukenya ate bw’avudde awo n’addamu n’awera nga bw’agenda okwesimbawo okukulira ekibina kya NRM mu mwka agwa 2016

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *