Amawulire

Poliisi yézoobye ne Besigye ngémulemesa okutambuza ebigere

Poliisi yézoobye ne Besigye ngémulemesa okutambuza ebigere

Ivan Ssenabulya

May 12th, 2022

No comments

Bya Ndaye Moses ne Rita Kemigisa,

Poliisi yezoobye neyali akaulembera ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye, nemulemesa okutambula okuyingira mu kibuga.

Dr Besigye nga mu kiseera kino yakulembera ekisinde kya People’s Front for Transition, asoose kutuuza bannamwulire mu maka g’eKasangati nanyonyola ebisaanye okukolebwa okumalawo akatubagairo kebyenfuna.

Alangiridde kawefube wokutambua ebigere okuteeka akazito ku gavumenti.

Agambye nti gavumenti esaanye okuekndeeza ku musolo ogumu nokukendeeza ku muwendo gwaba minisita, kijja kuyamba okukakanya ku bbeyi yemiwendo gyebintu eyekanamye.

Olumaze nafuluma, mu ntekateeka eyokutambuza ebigere gyabdde yalangiridde wabula poliisi temuganayizza nebamuyolyola nebamuzaayo munda mu nnyumba ye.

Oluvanyuma, tutegezeddwa nti amyuka Besigye mu kisinde kya PFT, Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago, avudde munda nagayagala okufuluma naye nebamugaana naye azeeyo munda mu nnyumba.

Mu biralala ebiriyo, addukanya amaka ga Besigye oba Home Manager, akwatiddwa.