Amawulire

Poliisi eyongedde okusindika fayiro ewa Ssaabawaabi wa Gavumenti

Poliisi eyongedde okusindika fayiro ewa Ssaabawaabi wa Gavumenti

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwoga. Poliisi eyongedde okubaako fayiro z’emisango gy’abamu ku bakungu ba gavumenti abali mu mivuyo gy’okubulankanya amabaati ga gavumenti zesindise eri Ssaabawaabi wa gavument abeeko engeri gyalungamya ku misango egitereddwa ku fayiro ezo.

Sabiiti ewedde, Minister w’ensonga ez’e Karamoja, Gorreti Kitutu, fayiro ye yakorwako era  oluvanyuma yatwalibwa mu Kooti, ono eyamusindika mu komera e Luzira okutuusa nga 12/04/2023.

Kati ng’ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru,  Omwogezi wa Poliisi mu gwanga Fred Enanga ategeezezza nga bwewaliwo abakungu abalala bangi bebasoyezza kajoji joji w’ebibuuzo era nga file zabwe zatuuse dda ewa Ssaabawaabi wa gavumenti.