Amawulire

Poliisi eyodde abagambibwa okuba ababbi

Ali Mivule

December 17th, 2013

No comments

Nabakooba again

Poliisi mu kibuga kampala eriko ekikwekweto ttokowenja ky’ekoze mw’eyoledde  abagambibwa okuba abamenyi b’amateeka 95.

Bano beebamu ku bagambibwa okuba nga babadde batigomya abantu mu kibuga n’emiriraano.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Judith Nabakooba agamba nti  bakyasunsula abantu bano okujjamu abatalina musnago era ng’abantu 18 beebakasiibulwa.

Nabakooba agamba nti ebikwekweto bikyagenda mu maaso okuyitira ddala mu nnaku enkulu.