Amawulire

Poliisi ewadde minisita Anite Obukuumi

Poliisi ewadde minisita Anite Obukuumi

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga, Poliisi enywezezza eby’okwerinda bya Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite.

Kino kyasanguzidwa Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga mu lukugaana lwa bannamawulire olwa buli bbalaza wali ku kitebe kya poliisi e Naguru.

Enanga atubulidde nga Minisita Anite bweyatadeyo okutya kwe eri ekitongole kya poliisi ekinonyereza ku buzzi bw’emisango nga bwe waliwo ba Mafia abagala okutwala obulamu bwe.

Enanga ataegezeza nag bwe batanakwatayo muntu yenna wabula alabudde abantu bonna abateka obubaka obwo bukyaayi ku mikutu gya facebook okukikomya bunambiro era poliisi ebalondoola.

Sabiiti ewedde waliwo ekibinja ky’abantu okuva e Koboko bwe balazze obutali bumatiivu eri gavuemnti eri ebyo kweringada kw’omuntu waabwe,nga kya diridde minisita Anite okwekubiira edduulu.