Amawulire
Poliisi etubidde n’omwana ow’emyezi 8
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ye Mukono etubide nomwana omuwere gwebasudde mu kabuga ke Wantoni, omuwala ateberezebwa okubeera mu myezi 8.
Okusiniira ku atwala poliisi yamaka Esaet Stella, omwanaono baamusanze ku mabbali ge kkubo, nobugoye.
Kati OC alaze okutya kungeri abaana gyebasubirwa ngono abadde mwana waakubiri, okulondebwa mu kitundu kino.