Amawulire

Poliisi e Jinja ebwatudde bbomu

Poliisi e Jinja ebwatudde bbomu

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Poliisi mu district ye Jinja esobodde okubwatula bbomu ebadde yalondeddwa omwana okuva mu kasasiro, wali mu tawuna kanso ye Bugembe.

Omuddumizi wa poliisi e Jinja Vincent Irama agambye nti bbomu eno, omwana yajironze mu Kitaba zone ku luguudo lwe Wanyama.

Eno ebadde bbomu kika kya Grenade nagabaana abalonda ebyuma ebikadde oba sikulaapu bebajironze, nebabaguliza ku poliisi.

Irama era atenderezza abatuuze awamu olwkyo kyebakoze okubaguliza ku poliizi mu bwangu, nebasitukiramu okujitegulula netatuusa ku bantu.