Amawulire

Poliisi etandise okunonyereza kunfa yómuvubuka eyayise mu faamu yómulamuzi

Poliisi etandise okunonyereza kunfa yómuvubuka eyayise mu faamu yómulamuzi

Ivan Ssenabulya

October 23rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Poliisi mu disitulikiti eyé Rukungiri etandise okunonyereza kunfa yómuvubuka owemyaka 19 eyakubwa oluvanyuma lwokuyita mu faamu yómulamuzi.

Kigambibwa nti Elia Natumanya nga mutuuze we a Rugarama mu gombolola ye Buyanja yakubibwa bweyasalinkiriza mu faamu yómulamuzi Christopher Gashira Bakye mu kudda eka.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu byé Kigezi Elly Maate agambye nti poliisi eriko abantu 2 bekutte ku butemu buno okuli Jonas Irahari ne Boaz Twebaze.

Bano kigambibwa nti oluvanyuma lwokukuba omugenzi bagenda ne baloopa omusango ku poliisi ya Buyanja ogwomuntu eyali asalimbira mu famu gye bali bakuuma..

Alipoota za basawo ziraga nti ono yafa oluvanyuma lwobuvune obwamutusibwako ku nsigo.