Amawulire
Poliisi etandise okunonyereza ku butemu obwakoledwa e Rukiga
Bya Nalwoga Juliet
Poliisi mu bitundu by’e Kigezi etandise okunonyereza ku kuwanyisiganya ebyasi okwabadewo ekiro ekikeseza olwa leero omwafiridde abantu 2.
Omwogezi wa Police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti obumenyi bw’amateeka buno bwabadde mu katown ke Hamisavu, kiruhura Rukiga district.
Abagenzi bategerekese nga Peter Nyengye, munnansi we Rwanda eyagezezako okuyingira eggwanga lya Rwanda ku bodaboda eyabadde yetise eby’amaguzi
Omulala ye Alex Nyesiga munnauganda eyakubidwa ebyasi bweyabadde agezako okutaasa Nyengye
Wabula Enanga anenyeza abasirikale ba Rwanda olw’okusumulula ebyasi mu bantu ba bulijjo.