Amawulire

Poliisi ereese yunifoomu empya

Poliisi ereese yunifoomu empya

Ivan Ssenabulya

March 15th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Poliisi ya Uganda, olwaleero eyanjudde yunifoomu emppya, eyabasirikale baabwe, nga yonna ya khaki.

Mu lukungaana lwabanwmulire ku kitebbe kya poliiis e Naguru kamisona wa poliisi Asan Kasingye agmbye nti aba Counter Terrorism naba Field Force Unit bokka bebagenda okuisgaza yunifoomu zaabwe, abasigadde bagenda kutandika kwambal emppya.

Kasingye agambye nti okuleeta yunifoomu emppya kyagendereddwamu, okukendeeza ku muwendo gwa yunifoomu ezenjawulo ogunbadde gususse.

Okwambala yunifoomu emppya, agambye nti kutandika lunnaku lwankya, ngagambye nti omusirikale anasangibwa nga tayambadde musibi nokukuba ekikalu anaama muntu mukyamu.

Yunifoomu ezibaddewo, zatongozebwa mu mwaka gwa 2007, mu biseera byolukungaana lwa CHOGM.