Amawulire
Poliisi erabudde abasuula ebipande bya Museveni
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi esabye abantu bagenda basuula ebipande ebisiiga enziro omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni, okukikomya naye batuuse abubaka bwabwe mu wofiisi ye mu butongle, mu kifo kyokujamawaza ebibuga.
Embeera eno erabiddwako mu kibuga e Iganga ne Masaka, ng’ebipande biriko obubaka obulabula pulezideti Museveni nti ave ku buyinza oba ayolekedde akaseera akazibu.
Kati omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi agambye nti abali emabega waakyo, belina ekigendererwa okutatana erinnya lyomukulembeze we gwanga nokutondawo obunkenke mu bantu.
Kati agambye nti mu kifo kyokukola bino, basaanye okuleet obubka buno ku poliisi oba nokubutwla mu wofiisi entongole ezimayiddwa.
Wabula agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.