Amawulire
Poliisi erabudde abalamazi okuba obulindala eri obutujju
Bya Prossy Kisakye, Poliisi erabudde abalamazi okubeera obulindala eri eby’okwerinda byabwe wakati w’okutebereeza obutujju obuyinza okukolebwa mu bikujuko bino.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawuliire ku kiggwa kya abajulirizi e Namugongo amyuka Ssekamwa wa police mu ggwanga Polly Namaye agambye nti waliwo abateberezebwa okuba abatujju abandiba nga bayingidde mu ggwanga gye buvudeko bwatyo n’asaba abalamazi okuloopa omuntu n’ebintu byonna byebekengera e Nmaugongo.
Namaye asabye abalamazi okukolagana na b’eby’okwerinda okulaba nga tewali muntu atusibwako bulabe.
Wano akakasizza nga ebyokwerinda bwe binywezeddwa eri abantu n’ebyabwe nga kamera zimulengera wala zitereddwa mu buli kanyomero.