Amawulire

Poliisi enonya abavubuka e Rubaga abalumbye ebyalo ne bakuba abantu emiggo

Poliisi enonya abavubuka e Rubaga abalumbye ebyalo ne bakuba abantu emiggo

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Poliisi eri ku muyiggo gw’akabinja k’abavubuka akatadde ebyalo okuli Lugala, Masanafu n’e Lubya ku bunkenke nga katambula kakuba abantu mu ssaawa za kafyu awatali kutaliza.

Akabinja kano akaabaddemu abavubuka abasoba mu 20 kaalumbye ebyalo  ne bakkakkana ku bantu ne babakuba nga n’abamu obwedda babasika mu mmotoka zaabwe.

Era kigambibwa nti waliwo omu gwe basse.  Joseph Muyanja 26, ow’e Masanafu mu Kinoonya zooni mu munisipaali y’e Lubaga ye yattiddwa ng’ono baamukubye ku mutwe ne bagwasa n’afa ng’atuusibwa mu ddwaaliro ly’e Mengo.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti akabinja kano kaaliko mu bitundu by’e Lubaga eby’enjawulo nga bakuba abantu kyokka baali baakakafufuggaza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *