Amawulire

Poliisi emaliriza okunonyereza kugwa Ssegirinya

Poliisi emaliriza okunonyereza kugwa Ssegirinya

Ivan Ssenabulya

November 15th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Poliisi emalirirzza okunonyereza ku misango gyokukuma omuliro mu bantu, egivunanibwa omubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya.

Kino kikakasiddwa omuwaabi wa gavumenti Joan Keko eri omulamuzi w’edaala erisooka ku kooti ya Buganda Road Doreen Karungi. 

Wabula Ssegirinya taleeteddwa mu kooti olwaleero, olwembeera etali nnungi gyalimu, wabula omusango gwongezeddwayo okutukira ddala nga 2 Decemba 2021 era abekitongole kyamakomera balagiddwa okumuleeta kwolwo.

Munnamateeka wa SSegirinya Shamim Malende ategezezza kooti nga bweyayogeddeko nomuntu we olunnaku lweggulo namutegeeza ngembeera ye bwegenda erongooka.

Oludda oluwaabi lugamba nti omuvunaanwa, omusango yaguzza wakati wa August ne September 2020 nga yasinziira mu Kampala, nayogera ebigambo ebikaawa ku mukutu gwe ogwa “Ssegirinya Muhammad Fans Page” ebyali bikuma omuliro mu bantu.

Yategeeeza nga bwewaliwo olukwe okutta akulembera NUP, Robert Kyagulanyi wabula nalabula nti ekyali kigenda okudirirra kyali kijja kubeera kikambwe nokusinga ekitta bantu ekyali e Rwanda mu 1994.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *