Amawulire

Poliisi ekyanonyereza kukiviriddeko emotoka ya Kenzo okola akabenje

Poliisi ekyanonyereza kukiviriddeko emotoka ya Kenzo okola akabenje

Ivan Ssenabulya

August 5th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga, 

Poliisi e Nsangi etandise okunonyereza kukiviriddeko emotoka yómuyimbi owerinnya Edirisa Musuuza aka Eddie Kenzo mwabadde atambulira okukola akabenje enkya ya leero e Maya mu disitulikiti eyé Mpigi.

Okusinzira ku mawulire getufunye abadde ne banne abalala 2 wabula katonda abawanzeko eddusu bonna basimatuse wabula ekivirideko akabenje kano tekinategerekeka

Amyuka omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kampala ne miriraano Luke Owoyesigyire agamba nti bano babadde batambulira mu motoka numba UBH 367X ngebadde etwala bakungubazi mu kuziika e Masaka.

Mu kiseera kino bajanjabirwa ku Omega Medical Center e Nakirebe, Mpingi district.

Nga ayita ku mukutu gwe ogwa Facebook, Kenzo yebaziza nnamugereka okumutaasa akabenje kano.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *