Amawulire

Poliisi ekuzizza Cheptegei nabaddusi abalala

Poliisi ekuzizza Cheptegei nabaddusi abalala

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ssabapoliisi wegwanga Martins Okoth Ochola akuzizza absirikale ba poliisi, abaddusi abetaba mu mpaka za 2020 Tokyo athletes.

Kuno kuliko Inspector of Police (IP), Joshua Cheptegei nomutendesi we IP Benjamin Njia abakuzizza okudda ku daala lya Assistant Superintendent of Police (ASP).

Abalala Chemutai Peruth amukuzizzza okudda ku ddaala lya Inspector of Police, Chelangat Mercyline okuva ku Assistant Inspector of Police okudda ku Inspector of Police, Chemutai Immaculate okuva ku daala lya Corporal okudda ku Sergeant ne Shida Renny okuva ku Police Constable okudda ku Corporal.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga, bagenda kuweebwa amabaluwa nokubambaza enyota, omukolo ogujja okubeera ku kitebbe kya poliisi e Naguru.

Ssabapoliisi era asambazze amawulire agabadde gayitingana nti waliwo omuwaatwa ogwamanyi mu mirimu gya poliisi.

Kino kyadirirra okufa kweyali amyuka Ssabapoliisi Lt Gen Paul Lokech wabulanga ekifo ekyo tekijjuzibwanga.

Mu bubaka obwasomeddwa omwogezi wa poliisi Fred Enanga, Ochola yagambye nti emirimu gitambula kinawadda.

Lokech kinajjukirwa nti yafa ekirwadde kyokutuyira kwomusaayi nga 21 August.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *