Amawulire

Poliisi ekutte taata olwokutulugunya abaana be

Poliisi ekutte taata olwokutulugunya abaana be

Ivan Ssenabulya

December 27th, 2021

No comments

Bya Gertrede Mutyaba

Abaana 2 nga baaluganda babasuulidde Robert Mukyazi, akulira eby’okwerinda ku kyalo Kabulasoke A mu ggombolola ye Kkingo mu disitulikiti ye Lwengo.

Ono atubidde n’abaana 2 mu maka ge okuli ow’emyaka 3 n’owemyaka 5, nga kigambibwa nti abaamumusuulira batuuze ku kyalo Kakoma mu muluka gwe Kisansala, mu gombolola ye Kkingo e Lwengo.

Hajat Sofia Nakate ngakola n’ekitongole ekya FIDA ategeezezza nga bwebaatwala obuvunaanyizibwa okulondoola bazadde b’abaana bano wabula nga balaga nti abaana tebabetaaga.

Kat akubiriza abazadde okukomya okuzaala abaana, mu kifo kyokuzaala bebatasoboe kulera.

Omwogezi wa poliisi mu ttunduttundu lye Masaka, Muhammad Nsubuga akakasizza okukwatibwa kwa Ivan Kisekka ng’agenda kuggulwako omusango gwoutulugunya omwana we.