Amawulire

Poliisi ekutte agambibwa okutta bbaawe

Poliisi ekutte agambibwa okutta bbaawe

Ivan Ssenabulya

September 10th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu district ye Lamwo enonyereza ku butemu obwakoleddwa ku musajja Muge Alfred, nga kigambibwa nti mukyala we yeyamusse.

Omugenzi owemyaka 81 abadde mutuuze ku kyalo Agula-Loboyoko “A” mu gombolola ye Agoro mu district ye Lamwo.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa Jimmy Patrick Okema agambye nti bano bafunyemu obutakanya, omukazi Lucia Lacaa owemyaka 70 kigambibwa nti namutta.

Kati poliisi ekutte omukazi ayambeko mu kunonyereza.