Amawulire

Poliisi ekutte abantu 15 ku byobutemu bwe Masaka

Poliisi ekutte abantu 15 ku byobutemu bwe Masaka

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi nabebyokwerinda abalala bategezezza nga bwebakutte abantu 15 nga bateberezebwa nti bebali emabega wobutemu, obuli mu bitundu bye Masaka.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku kitebbe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti baazudde nti waliwo obubinja bwabamenyi bamateeka 3 nga bwebugenda bwetaba mu butemu buno.

Obutemu buno, buli mu disitulikiti ezikola obwagagavu bwe Masaka, okuli Kyotera, Lwengo, Rakai, Bukomansimbi, nawalala, ngabantu abagoba mu 30 bekattibwa.

Wabula Enanga awabudde abakadde ababeera bokka, bakikomye bafune bebabeera nabo.

Poliisi etegezezza nti wewaawo tebanategeera ekigendererwa kyabatemu, basobodde okubaako byebazuula ebigenda okubayamba mu kunonyereza kwabwe.

Obutemu buno bwatandika nga 21 July ku kyalo Kamenyamigo ngeno battayo aba boda boda 2.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *