Amawulire

Poliisi egamba Ssegirinya ne Ssewanyana bebatta abantu e Masaka

Poliisi egamba Ssegirinya ne Ssewanyana bebatta abantu e Masaka

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Obutemu bwebijjambiya obuli mu bitundu byobwagagavu bwe Masaka poliisi ebutadde ku babaka ba palamenti bannakibiina kya National Unity Platform babiri.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye okunonyereza kwabwe ku butemu buno kubasudde ku mubaka wa Makindye West mu palamenti Allan Sewanyana nowa Kawempe North Muhammed Segirinya nga bebali emabega wóbutemu bwebijjambiya.

Enanga anyonyodde nti abantu bebakakwata ku byekuusa ku butemu buno bonna basonga ku babaka bano ababiri nti bebabatuma.

Ono agamba nti ababaka bano bazooka kutuuza lukiiko mu bitundu byomu Ndeeba wano mu Kampala nábatemu ne babasuubiza okubawa obuggaga.

Ssegirinya ne Ssewanyana ettuntu lyaleero beyanjudde ku poliisi ekkulu e Masaka ku byekuusa ku butemu buno wakati mu bukuumi

Bano baweerekedwako akulira oludda oluvuganya gavt mu palamenti Mathias Mpuuga, Francis Zaake, Shamim Malende ne Joyce Bagala

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *