Amawulire

Poliisi egamba Lumbuye wakugulwako emisango 15

Poliisi egamba Lumbuye wakugulwako emisango 15

Ivan Ssenabulya

August 9th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi etegezezza nga Fred Kajubi Lumbuye amanyiddwa nga Chemical Ali bwatali mu mikono gyabwe, wabula bagamba nti bamuguddeko emisango 15 gyagenda okuwerennemba nagyo.

Lumbuye kigambibwa nti yakwatibwa mu gwanga lya Turkey gyabadde abeera, wiiki ewedde, wabulanga negyebuli kati amayitire ge gatankanibwa.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire e Naguru, omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga agambye nti waddenga Lumbuye tanatuuka mu mikono gyabwe bategese emisango egigenda okumugulwako okuli okusasanya amwulire agobulimba, okusiga obukyayi mu bantu, okukuma omuliro mu bantu nemirala.

Agambye nti bwanabakwasibwa waakutwalibwa mu kooti avunanibwe.

Sound: Enanga on missing Lumbuye LUG

Fred Kajubi Lumbuye, abaddenga ayita ku mutimbagano ngasinziira e Turkey okukolokota gavumenti efuga kuno.

Wiiki ewedde, minisita omubeezi owensonga ze bweru we’gwanga Henry Okello Oryem yategeeza nga Lumbuye bwatali waggulu wamateka, era asaanidde okukwatibwa.