Amawulire
Poliisi e Kaleerwe etubidde n’omwana
Bya Prossy Kisakye
Poliisi ye Kaleerwe etubidde n’omwana ow’emyaka omusanvu agambibwa okuba nti y’esimatudde ku wa boda boda agambibwa okumubba e Butambala ewa jjajaawe n’amuleeta e Kampala.
Omwana ono ategerekese nga Kalibala ategeezezza poliisi nti abadde ababeera ne jjajjaawe omukazi e Butambala wabula waliwo owa bodaboda eyamugambye nti amuvugemu n’amuteeka ku pikipiki.
Wabula omwana agamba nti owa boda boda yamuvuga buvuzi n’amuleeta mu kiyumba munfanana nga kiraga nti tewali muntu yali akibeeramu, kwe kwemulula mpola naddukayo
Omwana ono yalondedwa omukyala eyamutute ku poliisi ye kalerwe nanyonyola eby’amutuuseko
poliisi etandise okusala amagezi kungeri y’okumukwataganyamu na b’engandaze.