Amawulire

Poliisi e Jinja ewenja Omuzamize eyasobeza ku mulwaddewe

Poliisi e Jinja ewenja Omuzamize eyasobeza ku mulwaddewe

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi mu kibuga ky’e Jinja ebakanye nomuyiggo ku musawo wekinnansi agambibwa okusobya ku mukazi eyabadde agenze okumusawula.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kiira James Mubi agambye nti bino byabadde ku kyalo Budondo mu Jinja North.

Mubi agambye nti omukazi ono yabaddeko ebyokoola, wabula omusawuzi yamugambye nti ajja kumujanjabira mu nsiko era awali entaana.

Eno gyeyamututte namuganzika waggulu ku malaalo namusobyako, ngagamba nti amutekamu ddagala.

Wabula oluvanyuma omukazi yemulugunyizza ku byamutusiddwako, kwekuddukira ku poliisi naggulawo omusango.

Mubi agambye nti okunonyereza kutandise.

//////////////////