Amawulire

PLE: Abawala basinze abalenzi obungi

PLE: Abawala basinze abalenzi obungi

Ivan Ssenabulya

March 29th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Omuwendo gwabayizi abawala abewandiisa okutuula PLE, agenda okutandika olunnaku lwenkya guli waggulu bwogerageranya ku banaabwe abalenzi.

Ku bayizi emitwalo 74 mu 9,811 abewandiisa okukola ebigezo P7, emitwalo 39 mu 5,855 bawala atenga emitwalo 35 mu 3,957 bebalenzi.

Kati walio enjawulo yabayizi emitwalo 4 mu 1,898.

Ssabawandiisi wekitongole kyebigezo mu gwanga ekya Uganda National Examinational Board, Daniel Odongo yategezezza nti kino tekiberangawo.

Odongo wabula akaitadde ku kuba nti waliwo abazadde basalawo okuwandiisa abayizi baabwe aba P6, bakole P7 omwaka guno.

Bangi baali basubidde nti amasomero tegajja kuddamu kuggulawo, olwomuggalo gwa ssenyiga omukambwe.

Olunnaku lwenkya abayizi bagenda kutandika PLE, nga bagenda kukola Okubala ne Social Studies ate bangfumndikire enkeera waalwo ne Science nolungereza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *