Amawulire

Aba Pioneer baasi bacacanca

Ali Mivule

December 20th, 2013

No comments

pioneer easy bus

Abakampuni ya baasi eya Pioneer easy baasi kyaddaaki bafunye ku buweerero.

Ekitongole ekiwoza ekya Uganda Revenue authority  kibakkirizza okuddamu okusaabaza abantu mu kibuga Kampala oluvanyuma lw’enzikiriziganya ey’okusasula ebbanja ly’omusolo ery’obuwumbi 8 mu bitundutundu mu bbanga lya myaka 2.

Akulira okukunganya amabanja mu kitongole kino , Abdi Salam Waiswa agamba nti aba pioneer bakusasula obukadde obuli wakati we 270 ne 300 buli mwezi okutuuka bwebanamalayo ebbanja lino.

Wabula tekinategerekeka oba baasi zino zakudda ku nguudo amangu ddala olw’emisoso emirala  gyebalina okumaliriza n’ekitongole ekiddukanya ekibuga ekya KCCA.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *