Amawulire

Patrick Amuriat akwatibwa mu kalulu ké Soroti

Patrick Amuriat akwatibwa mu kalulu ké Soroti

Ivan Ssenabulya

July 28th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe, ne Juma Kirya,

Poliisi mu kitundu kya East Kyoga ekutte ssenkagale wekibiina kya Forum for Democratic Change, Patrick Amuriat, eyali omubaka wa Kasese Robert Centenary ne Paul Omerou, Meeya wa Soroti East Division n’abalala 39.

Kino kikakasiddwa omwogezi wa poliisi mu East Kyoga Oscar Ageca.

Agamba nti abantu bano 42 basangiddwa nga banoonya akalulu ka munna FDC eyesimbyewo mu kudamu okulonda omubaka wa Soroti East mu palamenti, songa tekikkirizibwa kukola kakuyege ku lunaku lwókulonda

Alabudde bannabyabufuzi okwewala okumenya amateeka g’ebyokulonda ekikontana n’omwoyo gw’okwetaba mu kulonda okwekyenkanyi.

Agamba okukakasa nti wabaawo okugoberera amateeka n’obutebenkevu mu kulonda kwa leero bataddewo abasirikale abali mu byambalo na Batali era alabudde abayinza okwagala okukyankalanya okulonda kuno.

Kwo kutandise bulungi enkya ya leero era akulira okulonda mu kitundu kino atubuulidde nti okulonda kutandise ku saawa emu yennyini eyokumakya era bakufundikira ku ssaawa kumi ne emu.

Ebifo ebirondebwamu biri 63

Mu kwogerako naffe omusasi wa NTV Juma Kirya agambye nti okulonda kutandise bulungi yadde nga abalonzi bakyali bamuswaba.

munna FDC Moses Attan nowa UPC Pascal Amuriat bamaze dda okusuula akalulu kabwe.