Amawulire

Palamenti ya Uganda esiimye Mandela

Ali Mivule

December 10th, 2013

No comments

Mps bitter over missing debates

Palamenti ya Uganda olwaleero etudde okusiima emirimu egikoleddwa omugenzi Nelson Mandela

Kino kibaddewo nga tewali na minista yenna

Sipiika Rebecca Kadaga ategeezezza nga bweyafunye okutegeezebwa ekikereezi nti ba minista babadde bali mu kafubo kyokka nga yamaze okuyita ababaka okuteesa

Ekiteeso ekisiima Mandela kireeteddwa akulira abavuganya Nandala Mafaabi nekiwagirwa owe Bunyole Emmanuel Dombo.

Nandala asabye ababaka ne bannabyabufuzi obutakoma kutendereza Mandela wabula okugoberera byeyakola okuleetawo emirembe mu ggwanga lya South Africa.

Mu babaka abawagidde ekiteeso kino kuliko Emmanuel Dombo, Sanjay Tana , Jim Muhwezi , Alice Alaso,ne John  Ken Lukyamuzi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *