Amawulire
Palamenti eyisizza enongosereza mu teeka lya NSSF
Bya Monitor
Abakozi kati bakuwebwanga ekitundu ku ssente zaabwe zebaterekera obukadde bwabwe, ku myaka 45.
Kino kijja kuberawo ssinga omukulembeze we gwanga anateeka omukono ku bbago, lya NSSF Amendment Bill 2019, eryayisiddwa palamenti.
Ebbgo lino lyaletebwa gavumenti, nga libadde mu palamenti okumala emyaka 2.
Kino era kigenda kuyamba nabakozi abafiirwa mirimu gyabwe, nebatafuna mulimu mulala aokumala emyaka 5 bakulinda okutuusa lwebanaweza emyaka 45, bamuwe ku ssente ze 40%.
Omuntu bwaba aterekedde emyaka 10, ngaweza emyaka 45 bakumuwangako 20%.
Enogosereza endala ezakoleddwa, abantu abaliko obulemu nga batereka nekitavvu, bwonofiirwa omulimu, nolemererwa okufuna omulimu omulala, mu mwaka gumu bakukuwanga ku ssente zo 75%
Palamenti era yakiriza nti ekitavvu kyabakozi kirondoolwe nokulabirirrwa minisitule 2 eyabakozi neyebyensimbi, okwakukana ku kibaddewo nga ministule yabakozi yejidduklanya.
Mu biralala akakaiiko akakwamu kakutonderwawo, nga kaulako nabakozi.