Amawulire

Palamenti eyisiza embalirira eyényongeza ya buwumbi obusoba mu 600

Palamenti eyisiza embalirira eyényongeza ya buwumbi obusoba mu 600

Ivan Ssenabulya

May 19th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku mbalirira yayisiza embalirira eyenyongereza ya buwumbi 617.9 okuyambako enzirukanya yémirimu mu bitongole bya gavumenti nókusasula emisaala gyábakozi.

Ebitongole ebimu ebigenda okuganyulwa mu nsimbi zino, kuliko yafeesi ekola kunsonga zómuk weggwanga nóbuwumbi 86.3 bn nga zakukola ku pulogulamu ye byasayansi ne technologia, ate obuwmbi 77 zakukola kunsonga ezitasanguzibwa.

Mu birala minisitule eyensonga ezebyokwerinda eweereddwa 152 nga ku zino obuwmbi 64 zakukola ku kikwekweto kya updf ekya shujja mu DRC, obuwumbi 215.7 zakusasula busiimo bwa bakozi ba gavt, obuwmbi 21 kuliyirira bantu kunsonga ze ttaka, ate aba  Uganda Muslim supreme council baweereddwa obuwmbi 2.5 okukola kukulonda kwa bakulembeze.

Essaza lya Fort Portal Catholic mu bakatoliki liweereddwa akawumbi kamu ne ssaza lya bakristaayo erya greater Ankole liweereddwa obukadde 600 zibayambe mu kutegeka okulamaga kwomulundi guno.

Minisita omubeezi owaguno na guli mu byensimbi Henry Musasizi yayanjiza embalirira eno nategeeza nti ensimbi mu bitongole bye ddiini zibadde zetaagibwa mangu olwemikolo egyo.