Amawulire

Palamenti eyisiza ebbago ly’enongosereza ku Nsimbi z’abakozi

Palamenti eyisiza ebbago ly’enongosereza ku Nsimbi z’abakozi

Ivan Ssenabulya

November 24th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Palamenti leero eyisiza ebbago lye tteeka erye nnongosereza elikwata ku kitavu kya bakozi erya National Social Security Fund (Amendment) Bill, 2021.

Kati ebbago lino lilindiridde mukulembeze weggwanga kulitekako mukonogwe litandike okukola.

Palamenti etudde enkya ya leero okwongera okwetegereza obumu ku buwayiro obulilimu

Obumu ku buwayiro ako 7, kabonereza abakozesa abasalako abakozi ensimbi za NSSF ate ne batazitwalayo.

Bano bakuwanga engasi ya bitundu 20% kunsimbi za bakozi zebatatwalayo.

Wabula abakaka bagaanye akawayiro aka 36B okutwala ensimbi ezitamanyidwako bannyinizo mu nssf

Minisita owe kikula kyabantu nábakozi Betty Amongi yayanjudde ennongosereza zino mu tteeka.

Olunaku lweggulo palamenti yayisiza akawayiro akakkiriza omuteresi okugyayo ebintu 20% kunsimbize kasita aba nga awezeza emyaka 45 nga aterese ne kitongole kino emyaka 10.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *