Amawulire

Palamenti eyisiza ebbago lyétteeka ku Butujju

Palamenti eyisiza ebbago lyétteeka ku Butujju

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Parliament leero eyisiza ebbago lye teeka ku butujju erya Anti-Terrorism (Amendment) bill 2022 nókulabula eri gavt obutalikozesa kutulugunya abali ku ludda oluvuganya.

Ebbago lino ligenderedde ku nyweeza mateeka kubeeyambisa ensimbi mu mungeri emenya amateeka, naddala mu kuvugirira ebikolwa ebyobutujju.

Anasingisibwa omusango mu tteeka lino wakusibwa emyaka 20

Wabula omubaka wekibuga kye Bugiri, Asuman Basalirwa ayagala wabeewo okutangazibwa ku butujju kyebutegeeza kuba bannabyabufuzi bangi abakwatibwa ne batekebwako emisango gyobutujju.