Amawulire

Palamenti eyagala kumanya ku Enaje dulinki

Palamenti eyagala kumanya ku Enaje dulinki

Ivan Ssenabulya

August 21st, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omubaka we Kasambya mu palamenti Gaffa Mbwatekamwa asabye gavumenti nti wabeewo ekikolebwa ekyamantu, ku byokunywa ebyakazibwako erya energy drink, obumeruka wano na wali mu gwanga.

Obwokunywa buno agamu ku makampuni gabutunda gagamba nti buzaamu amaanyi, okugogola emisuwa nemigaso mingi eri omubiri.

Wabula omubaka Mbwatekamwa alopedde palamenti, nti ebyokunywa bino byabulabe, era asabye gavumenti okubvaayo nolukalala lwabo bebakakasa abalina layisinsi.

Mu kwanukula minister owebyobusubuzi amakolero nobwegassi Amelia Kyambadde asubizza nga bwajja okuleeta olukalala luno, wiiki ejja.