Amawulire

Palamaneti eyisizza ebbago lye mwanyi

Palamaneti eyisizza ebbago lye mwanyi

Ivan Ssenabulya

March 19th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Palamenti, eyisizza ebbago erya National coffee bill omulundi ogwokubiri.

Ebbago lino lirungamya ku nnima nobusubuzi bwe mwanyi, nga mwajiramu nekyokuwandiisa abalimi be mwanyi.

Lyali lyayisbwa mu August wa 2020 okusikira eteeka erya Uganda Coffee Development Authority Act, 1991.

Wabula omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni, yagaana okulitekakao omukono nalikomyawo eri palamenti babeeko obuwayiro bwebaddamu okwetegereza.