Amawulire

Pakistan egenda kuggulawo ekitebbe kyayo mu Uganda

Ivan Ssenabulya

February 21st, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Egwanga lya Pakistani liri mu ketalo okuggulawo ekitebbe kyalyo mu Kampala ku ntandikwa y’omwezi ogujja omwaka guno 2022.

Agha Aslam, nga ye mukwanaganya wemirimu ku kibiina kya Pakistan Association of Uganda, agambye nti omukolo gujja kuberawo mu wiiki esooka eya March.

Agambye nt balindiridde Irfan Wazir, omumyuka wakulira emirimu ku kitebbe kya Pakistan mu kibuga Kabul mu Afghanistan, okukulembera omukolo.

Pakistan yali yaggalawo ekitebbe kyayo mu Uganda mu mwaka gwa 1997 olwebbula lyensimbi nga bannansi baabwe abaali bajja kuno baali bakendedde.

Visa babadde bazikolerako mu kibuga Nairobi ku mulirwano mu gwanga lya Kenya.

Agambye nti baliko ne bannamawulire bann-Uganda 25 bebagenda okutekamu ensimbi, okulambula eibuga Islamabad okulaba ebikolebwa mu gwanga lyabwe.

Ebibalo biraga nti mu Uganda mulimu bannansi ba Pakistanis abali mu 5,000.