Amawulire

Ow’emyaka 7 bamusobezaako nazirika

Ow’emyaka 7 bamusobezaako nazirika

Ivan Ssenabulya

May 20th, 2019

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Poliisi e Kiboga ebakanye n’omuyigo gw’omusajja atanaba ku tegerekeka eyawambye omwana ow’emyaka 7 namusobyako namuleka, ngasigaddeko kikuba mukono.

Bino bibadde ku kyalo Lwatimba mu gombolola ye Bukomero mu district ye Kiboga.

Okusinzira ku jajja w’omwana ono Hategeka Jane omusajja eyawambye omwana yabadde atambulira ku pikipiki.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala Nobert Ochom ategezezza ngomwana ono bwajiddwa mu nsiko omusajja wamukoledeko ebyensonyi nga bamusanze azirise.

Kati adusiddwa mu ddwaliro e Kiboga okufuna obujnajabi, nga ne poliisi egamba ntii etandiise okunonyereza.