Amawulire
Ow’emyaka 50 ettaka limusizza
Bya Barbra Nalweyiso
Poliisi mu district ye Mityana etandise okunonyereza kungeri omusajja ow’emyaka 50 gyeyatemuddwamu.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Wamala Norbert Ochom agambye nti omugenzi ye Kamada Muhammad Kimbugwe omutuuze we Minaana Galabi mu division ye Tamu mu munispaali ye Mityana.
Agambye nti omugenzi bamutemyetemye nebamutta, bwabadde aliko ebbaluwa gyatwalidde abapangisa ng’abategeeza ku lukiiko olubadde lusubirwa okutuula nga 13 omwezi guno ogwomunaana olusubirwa okwetabwamu minister omubeezi ow’ebye ttaka Persis Namuganza.
Kigambibwa nti omugenzi abadde aliko abantu bagugulana nabo kubye ttaka, lyeyagula.
Twogeddeko nomu kiu batuuze Ssensalo Emmanuel, natubuliira ku mbeera eri mu kitundu.
Poliisi egamba nti etandise okunonyereza.