Amawulire
Ow’emyaka 40 asobezza kuw’emyaka 8
Bya Sadat Mbogo
Poliisi mu district y’e Mpigi eriko omusajja owemyaka 40 gw’ekutte ku bigambibwa nti yakkidde akaana ka mulirwanaa we ak’emyaka 8 n’akagagambula obumuli.
Akwatiddwa mutuuze ku kyalo Kayanja mu gombolola y’e Buwama mu district y’e Mpigi.
Jjaja w’omwana Edward Mpiima annyonnyodde engeri ssedduvutto ono gyeyasenzesenze omwana, okutuuka okumusaobyako mu nyumba ye.
Atwala police y’e Buwama Albert Natumanya akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono nga nokunonyereza agambey nti kukyagenda mu maaso.