Amawulire

Ow’emyaka 17 eyabika Ochola bamusonyiye

Ow’emyaka 17 eyabika Ochola bamusonyiye

Ivan Ssenabulya

October 18th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ssabapoliisi wegwanga Martins Okoth Ochola aliko omwana gwasonyiye, wamyaka 17 emisango gyokusasanya obulimba nokukozesa obukyamu emitimbagano.

Ono yayita ku mukutu gwe ogwa Facebook, nabika Ssabapoliisi wegwanga mbu yafudde.

Omwogezi wekitongole kyabambega ba poliisi Charles Twine agambye nti balondoola ennamba ye ssimu, eyakozesebwa ouggulwo omukutu gwa Facebook mu mannya ga Fatuma Nakazibwe.

Wabula bwekata nanyini ssimu, yegaana okuberako ne akawunta eyogerwako naye yalumiriza mutabani we, owemyak 17 nti yekozesa essimu ye.

Omwana Mubarak Mubiru yakiriza okuteeka obubaka buno ku facebook, wabula naasaba ekisonyiwo.

Kati Ssabapoliisi amusonyiye, wabula file ye bagiwerezza Ssabawaabi wa gavumenti alina obuyinza obwenkomeredde okumujjako emisango gino mu butongole.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *