Amawulire

Ow’eKampala yetugidde mu kyalo e Buikwe

Ow’eKampala yetugidde mu kyalo e Buikwe

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi e Lugazi mu gombolola ye Ngogwe mu disitulikiti ye Buikwe, etandise okunonyereza ku nfa ya Mpiima Derrick, agambibwa okwetugira ku muguwa.

Bino bibadde ku kyalo Maseke nga nekyamujje mu mbeera okwetta tekinaba kutegerekeka.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto agambye nti omugenzi abadde yakatta ku kitundu wiiki nga 2 emabega okuva e Kampala gyabadde akolera.

Kigambibwa nti obulamu bwabadde bukalubye e Kampala kwekuddayo ku kyalo nategeeza kitaawe nti agenda kunoonya emirimu gyonna eginaberawo gyajja okukola.

Kati abadde yabuze okuva awaka, okuva nga 23 wabula oluvanyuma basanze omulambo gwe, nga gulenejejjera ku muti.

Omulambo gutwaliddwa mu gwanika lyeddwaliro erya Nkonkonjeru Health Center III okwongera okwekebejjebwa.