Amawulire

Owabanalulungi ku rolex kwafiira

Owabanalulungi ku rolex kwafiira

Ali Mivule

August 18th, 2016

No comments

 

rolexAkulira okutegeka empaka Zobwanalulungi z’ebyobulambuzi Maria Mutaganba asabye abavubuka okuwagira enteekateeka y’omwoleso gwa Rolez wano mu kampala.

Olunaku olweggulo minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi Godfrey Kiwanda yatongozza entujjo y’okukuba rolez zino egenda okubeerawo nga 21 omwezi guno.

Kati mukyala Maria Mutagamba nga era yaliko minisita w’ebyobulambuzi agamba rolex zino zijja kwongera okusikiriza abalambuzi wamu n’okuwa abavubuka emirimu.
Mukyala Mutagamba era asabye ba minisita bonna , ababaka ba palamenti n’abalala bonna okuwagira enteekateeka eno  n’okukomya okunyooma abetaba mu bizinesi y’okusiika rolex.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *