Amawulire

Owa pipo ppawa yafiridde mu kabenje e Luweero

Owa pipo ppawa yafiridde mu kabenje e Luweero

Ivan Ssenabulya

August 8th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wa Kyadondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi asubirwa mu district ye Luweero, okwetaba mu kuziika kw’omugoba wa Boda boda eyafiira mu kabenje nga kigambibwa nti yatomerwa mmotoka ya poliisi.

Hakim Ssekamwa yafuna akabenje kano ku Bbalaza, polisi bweyali egobagana naba people power, nga Bobi Wine ava mu kooti e Gulu.

Omwogezi wa people power Joel Ssenyonyi, atugambye nti mmotoka ya poliisi namba UP 2525, yeyatomera omuvubuka ono.

Mungeri yeemu omu ku batuuze mu kabuga ke Kasana atubuliidde nti, ebyokwerinda bunywezeddwa nga poliisi era eriko naba boda boda beyagala okukwata.

Amwulire agava mu kitundu kino galaga nti embeera ekyali ya bunkenke.

Kati Joel Ssenyonyi era wakanyizza nekiwandiiko ekigenda kisasaana ku mitimbagano, rkiraze ngaba People Power bwebetonze olwebyo byebabadde bogera ku kufa kwa Micheal Kalinda, amanyiddwa nga Ziggy Wine.

Ekiwnadiiko kino kibadde kiraga nti bawubisibwa, wabula Ssenyonyi agambye nti ekiwandiiko ekyo kyabulimba ssi yeyakifulumizza.

Agambye nti baakwongera okubanja gavumenti obwenkanya ku kufa kwomuntu waabwe ono.