Amawulire

Owa mobile money attiddwa mu ntiisa

Owa mobile money attiddwa mu ntiisa

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kapeke mu gombolola ye Nama mu disitulikiti y’e Mukono, bwebasanze omukayala abadde akola ku Mobile Money, nga yattiddwa mu bukambwe.

Omugenzi ategerekeseko lya Rebecca nga wabadde, akolera era wabadde asula songa abadde muppya mu kitundu.

Ettemu lino libaddewo mu kiro ekikesezza olwaleero, ngolwamaze okumutta nebamubikka mu buliri.

Ssentebe w’ekyalo Godfrey Nkumbi agambye nti batebereeza nti eyasse omuwala ono, abadde muganzi we.

poliisi ye Mukono ezze nejjawo omulambo negutwalibwa mu gwanika lye ddwaliro e Kawolo, nebategeeza nti okunonyereza kugenda mu maaso.