Amawulire

Owa Ebola asattiza abasawo

Ali Mivule

June 5th, 2017

No comments

Bya Julius Ocungi

Waliwo omukazi agambibwa okubeera n’ekirwadde kya Ebola ayawuddwa ku balwadde abalala mu ddwaliro lya St Mary’s Hospital Lacor  mu disitulikiti ye Gulu.

Omu kubasawo abakugu mu ddwaliro lino  Dr Emmanuel Ochola agamba ono baamukwatidde mu ddwaliro lino nga y’avudde Adjumani  kubanga y’atuusa yenna avaamu omusaayi mu buli katuli kamubiri abasawo kwekumwawula ku balala.

Dr Ochola  omusaayi gw’ono gwatwaliddwa  okukeberebwa aba Uganda Virus Research Institute okumanya ddala oba ono alina Ebola oba nedda era bakyanonyerza oba yalinye taxi okujja mu ddwaliro kubanga singa kisangibwa nti mulwadde olwo ayinza okuba nga yaiize n’abaabadde mu taxi.

Mu October wa  2000 abantu abali eyo mu 400 baalumbibwa ekirwadde kya Ebola nga era 200 bafiira mu wiiki ntono.

Omwezi omuwedde ekitongole ky’eby’obulamu mu nsi yonna kyalangirira nga Ebola bweyabalukawo mu ggwanga lya Democratic Republic of Congo 3 nebafa.