Amawulire

Owa Bodaboda e Kaliro attiddwa muntiisa

Owa Bodaboda e Kaliro attiddwa muntiisa

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abatemu basse omugoba wa boda boda mu disitulikiti ye Kaliro nebakuliita ne pikipiki ye.

Omugenzi ye Hussein Waiswa ngabadde mutuuze Bukubaituba mu tawuni kanso ye Nawaikoke e Kaliro.

Atwala poliisi ye Nawaikoke, Gideon Nibimanya agambye nti omugenzi baamujje ku siteegi nebamutwala abavugeko, naye batuuse eyo nebamwefuliira nebamutta.

Oluvanyuma omulambo gwe baagusudde mu kasaka okumpi nekkubo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *