Amawulire

Owa bodaboda attiddwa mu bukambwe

Owa bodaboda attiddwa mu bukambwe

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2019

No comments

Bya Magembe Sabiiti, Omuvuzi wa bodabooda ku siteegi y’e Kalamba mu town Council ya Kiganda e Kassanda abadde amaze enaku 3 nga abuze azuliddwa nga yattibwa.

Omugenzi ye Ssekate Matia nga omulambo gwe guzuuliddwa ku kyalo Nakakenke era nga gutandise okuvunda.

Abavuzi ba bodaboda mu kitundu kino balajanidde Police okubatasako ababbi ababatta n’okutwala pikipiki zaabwe.

Omwogezi wa Police mu Wamala region Ochom Nobert ategezezza nga Police bwetandise okunonyereza ku bayinza okuba nga benyigira mu ttemu lino.