Amawulire
Owa Boda boda eyasobya ku Mumerica
Bya Ruth Anderah
Owa boda boda owemyaka 30 avunaniddwa noluvanyuma nebasindika ku alimanda mu kkomera e Luzira nga kigambibwa nti yakakana ku mukazi muansi wa America namusobyako.
Fahad Kasagha asimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti enkulu Jane Francis Abodo wabula neyegaana.
Okuyita mu nkola eya technologiya ku katambi omukazi gwebasobyako yategeeza kooti nti yasobola okulaba langi ya pikipiki omudsajja ono gyayli avuga.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Harriet Nakigozi lugamba nti owa boda ona baamupangisa avuge omukazi ono amaiutwale e Bbunga wabula kyeyakola yamuvuga amautwala walala mu kasiko, gyeyasinziira namualirako ejakirizi.
Omusango kigambibwa nti yaguzza nga May 18th 2018 e Kawanda mu Nakyesanja zone mu district ye Wakiso.
Kati omulamuzi alagidde nti omusango guno gutandike okuwulira nga July 25th.