Amawulire

Oulanya yafudde kirwadde kya Kokkolo ekyanafuna ebitundu ebyómunda

Oulanya yafudde kirwadde kya Kokkolo ekyanafuna ebitundu ebyómunda

Ivan Ssenabulya

April 5th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa

Ababaka mu lukiiko lwe gwanga olukulu bakyagenda mu maaso nókukungubaga nokujjukira emirimu gyomugezi eyaliko sipiika wa palamenti eyomulundi ogwe 11 Jacob Oulanya.

Eyaliko omukubiriza wolukiiko lweggwanga olukulu era nga ye minisita avunanyizibwa kunsonga za amawanga agali mu mukago gwa East African Community, Rebecca Kadaga asabye palamenti eteeke munkola etteeka ku biyiiye mu kujjukira omugenzi Jacob Oulanyah.

Oulanyah ajjukirwa okuleeta ebbago lye tteeka erya Copyright and neighboring rights bill mu 2006 okusobola okulungamya abayimbi ne bannakatemba.

Bino abyogeredde mu lutuula olwokusiima emirimu gyomugenzi Oulanyah ku palamenti, Kadaga agambye nti Oulanyah yalina obwagazi mu buyiiya ne bisanyusa kale nga etteeka ku biyiiye lisanye okuteekebwa munkola ku lulwe.

mungeri yemu Palamenti akawungeezi ka leero eyisiza ekiteso ababaka buli omu aweeyo akasente ezinayamba okuwanirira famile yomugenzi Jacob Oulanya.

Ekiteeso kino kileetebwa minisita omubeezi owobutonde Beatrice anywar.

Ye Minisita owe byobulamu jane ruth aceng abuulidde eggwanga ekyasse abadde sipiika wa palamenti ey’omulundi ogwe 11 Jacob Oulanyah, ngono yafudde birwadde byanjawulo ebyakosa ebitundu bye by’omunda.

Bino abyogedde awa alipoota kunfa yomugenzi gyasomedde palamenti ku nfa y’omugenzi.

Agambye nti ekisooka abadde nobuzibu ku kibumba namawugwe, era yatwalibwako nemu ddwaliro e Mulago ku birwadde byebimu.

Ebirala agambye nti yalwala n’omutima kwekumwongerayo mu gwanga lya America okujanjabibwa.