Amawulire

Oulanya awolerezza Museveni

Oulanya awolerezza Museveni

Ivan Ssenabulya

November 12th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah, avuddeyo aliko byayogedde ku byebalumiriza minisita wa sayansi ne tekinologiya, eranga ye muwabuzi wa pulezidenti ku birwadde ebikambwe Dr Monica Musenero.

Musnero bamulumiziza enguzi, ngomubaka wa munisipalai ye Ntungamo Yona Musinguzi yaleese obujulizi obulaga nti yabulankanya obuwubi 31 ezaali ezokukola eddagala eryaffe mu Uganda erigema ssenyiga omukambwe.

Kati Oulanyah agambye nti ebigambo byomuklembeze wegwanga tebitegeeza nti kwabadde kutisatiisa.

Omubaka wa munisipaali ye Kiira Ssemujju Ibrahim Nganda kyadiridde okwemulugunya nagamba nti wabaddewo okutisibwatisibwa, ku byokunonyereza kwebatandiseeko ku Musenero.

Museveni bweyabadde ku mikolo gyolunnaku lwa sayansi e Kololo yalabudde abalwanyisa Dr Musenero, nalayira nti waakubalumba.