Amawulire

Omulabirizi Ssebagala akuutidde abasumba ku byóbutujju

Omulabirizi Ssebagala akuutidde abasumba ku byóbutujju

Ivan Ssenabulya

November 6th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Omulabirizi we Mukono James William Ssebaggala alabudde abasumba bonna mu Bulabirizi okwerinda ebikolwa eby’obutujju.

Agambye nti batekeddwa okwongeramu amaanyi mu byokwerinda, okukebera abantu bonna abayingira mu makanisa atenga teberebidde nekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Omulabirizi yasinzidde mu lukiiko lw’obulabirizzi olwa buli mwaka olugenda mu Synod Hall ku kitebe ky’obulabirizi e Mukono nakola okulabula kuno.