Amawulire
Otafire avumiridde abalumbye omulamuzi Kamasanyu
Bya Benjamin Jumbe, Minister w’ensonga za amateeka Kahinda Otafire avumiridde obulumbaganyi obwakolebwa ku omulamuzi we ddaala erisooka ku kkooti ya Buagnda road Gladys Kamasanyu sabiiti ewedde.
Bwabadde ayogerako eri bannamawuliire kusengejeero lya mawuliire mu Kampala, Gen Kahinda Otafiire ategezezza nga ekiklowa kino bwe kimenya mateeka ekitagenda kukirizibwa .
Ono ategezza nga ministry ye gyatwala bwegenda okuwagiira entekanteeka z’okulaba ng’eby’okweinda by’ekitongole ekiramuzi binywezebwa omuli n’okusaawo obukwakuliizo okuyingira mu kkooti.
Mungeri yemu akinoganyizza nga bona abaali emabega w’obulumbaganyi obw’akolebwa omuli n’okwonona ebintu bya kkooti bwe bagenda okuvunaniibwa nga amateeka bwegalagira.